“Tonyomoola nsala ya kkooti”: Aba FDC -Najjanankumbi bawabudde pulezidenti
Ekibiina ki FDC kirabudde Palamenti obutatiisibwatiisibwa ebyo ebyayogeddwa Pulezidenti Museveni ku nsalawo ya kkooti ensukkulumu ku Ky'okuwozesa abantu baabulijjo mu kkooti y'amagye. Pulezidenti,yategeeza nga bw'agenda okwatagana ne Ssaabawolereza wa gavumenti okulaba nga palamenti ekkola ennongoserezza mu tteeka erifuga amagye, kisobozese kkooti eno okuwozesanga abantu baabulijjo, wabula abakulira FDC bagamba ssinga palamenti enaakola kino, ejja kuba eridde mu bannansi olukwe.