Abazadde balumbye essomero :Alikulira bamulumiriza bunafu
Abazadde ab’essomero lya gavumenti elya siniya li Kassanda S.S mu disitrict ye Kassanda bakedde kulumba somero lino nga baagala kugoba mukulu walyo gwebagamba nti asusizza obuzembe. Bano bagamba nti Head master Musa Kizito nti asudde essomero lyabwe elyali likola obulungi nga kino kiva ku ngeri gyakwatamu emirimu nga nolumu ku ssomero talinnyayo. Kyoka bakanze kunoonya mukulu wa ssomero nga tebamulabako. Akulira eby’enjigiriza e Kassanda tukitegedde nti bano abakakanyiza , nabategeeza nga bwagenda okubawa omukulu we ssomero omuggya