E Kasese abayizi basanze essomero liggaddwa lwa bbanja
Abayizi ku ssomero li Unique Valley Primary School mu munisipaali y’e Kasese, bakonkomadde bwebabadde bagenze kusomero okutandika olusoma olusooka nebasanga nga ligale.
Ebimu ku bizimbe by’essomero, byakoneddwa abantu abatannategeerekeka.
Kino kivudde kubanja ery’obupangisa erya myaka 8 eribabanjibwa essomero lino nga lyabukadde 90.