TWAGALA BANTU BAFFE : Bannamateeka ne bannakisinde ki PFF batandise kaweefube w’okubanja abasibe
Bannamateeka nga bali wamu ne bannakisinde ki PFF batandise kaweefube w’okubanja abasibe abawozesebwa mu kkooti y’amagye oluvanyuma lwa kkooti ensukkulumu okuyisa ekiragiro nti bano eno bawozesebwayo mu bumenyi bw’amateeka.
Bano basabye ekitongole ky’amakomera okuyimbula abasibe babwe naddala Dr. Kiiza Besigye wamu ne munne Obedi Lutale be bagamba nti babadde balina kuba bweru nga balya butaala.
Kati bano balumbye kaminsona general w’amakomera, Johnson Byabashaija ababuulire lwaki abantu babwe tebannayimbulwa - batubuulidde nga bwabategeezeza nga bwebakyalinda okuwabulwa okuva ewa ssaabawolereza wa gav’t ku nsonga eno.