OLUSOMA OLUSOOJA LUTANDISE :Poliisi erabudde abakulira amasomero
Poliisi erabudde amasomero okuba obulindaala eri eby’okwerinda by’abayizi, mukiseera kino nga olusoma olusooka lutandika okwewala obuzibu naddala obuva ku bulagajjavu bwabwe.
Ebimu ku biteereddwako essira kwe kwerinda omuliro kwossa n’okwetegereza ebintu abaana byebakomyewo nabyo ku masomero.
Bbo abazadde basabiddwa okuba abegendereza ku bafere obutabibwako ssente za school fee.