Abagoba ba Taxi e Wakiso balumbye ekitebe kya tawuni kanso
Abagoba ba Taxi e Wakiso balumbye ekitebe kya tawuni kanso y'e Wakiso nga bavunaana abakulembeze ku kanso eno okubajjako emisolo egy’ekimpatiira gyebagamba nti tebakkiriziganya nagyo.
Bano balumiriza abantu Ssekinoomu okuteekawo paaka ezitali mu mateeka nebatandika okubasolozaamu ssente kwossa n'okubatulugunya nga babagaana okutikkira mu bifo ebimu.
Kyokka aba tawuni kanso egamba okuteekawo paaka eno bagenderera kukendeeza mugotteko ku nguudo saako n'okukendeeza obubenje.