Abalala 2 bwebakakasiddwa okubeera n'ekirwadde ki Ebola Sudan
Minisitule y'eby’obulamu etegeezezza ng'abantu abalala 2 bwebakakasiddwa okubeera n'ekirwadde ki Ebola Sudan, ate nga abasoba mu 200 bebateereddwa ku kalantiini nga bali mukwekebejjebwa.
Wadde ng'abantu basabiddwa okubeera obulindaala, minisitule egamba embeera y'ekirwadde kino tennasajjuka.
Amasomero gakubiriziddwa okukolagana n’ab’eby’obulamu singa baba balabye akabonero akalaga obulwade bwa Ebola ono mu masomero gaabwe.