EKIFO KYA KAWEMPE NORTH : NUP ekyasunsula abeegwaanyiza kkaadi
Ebbugumu buli lukya ligenda lyeyongera ku bavuganya okukwatira ekibiina ki NUP bendera yakyo kukifo ky’omubaka wa Kawempe North omwali omugenzi Muhammed Ssegirinya.
Mubazze olwaleero mwemubadde ne munnamateeka Lyimbaazi Nalukoola, ekibiina kino kigamba kyakukomekkereza eddimu lino olunaku lw’enkya.