Dr. Kizza Besigye n’omuyambi we Obeid Lutale tebalabiseeko ku kkooti
Dr. Kizza Besigye n’omuyambi we Obeid Lutale tebalabiseeko ku kkooti y’amagye nga bwekibadde kisuubirwa olwaleero.
Okusinziira ku kkooti y’amagye eyasembayo okutuula bano bazzibwa ku alimanda nebalagirwa okukomezebwawo olwaleero.
Teri muntu yenna olwaleero akkiriziddwa kuyingira kkoot eno kababe bannabyabufuzi era obwedda abakuuma ddembe beetera okulaba nga tewali aleeta kajagalalo.
Eky’obutaleetebwa tekimanyiddwa oba nga kyekuusibwa ku nsala ya kkooti ensukkulumu nga bano bwetabalina kuwozesebwa mu kkooti.