TWAGALA BWENKANYA : Abazadde abasobeddwa olw’omwana wabwe eyattibwa
Waliwo abazadde abasobeddwa olw’omwana wabwe eyattibwa kyoka n’abaali bakwatiddwa ku ttemu lino poliisi yabayimbula nga egamba yabulwa obujjulizi obumala okuluma abantu bano.
Bino byali ku kyalo Mukikesa mu muluka gw’e Kitojo e Mbarara, poliisi egamba ekola butaweera okunoonya eyali omutwe omukulu mu ttemu lino.
Mukiseera kino bazadde b’omugenzi babuliddwa eky’okuzaako.