LIIGI Y'ABAKAZI: Aba Kampala Queens Beewera
Oluvannyuma lw’okuwangula omupiira gw’abwe ogw'aguddewo oluzannya olw’okubiri olwa liigi y'abakyala ey’omupira gw’ebigere, aba Kkiraabu ya Kampala Queens bagamba nti bagenda kwongera okukola n’amaanyi okutuusa nga bawangudde ekikopo kya sizoni eno. Bano beebakulembedde liigi n’obubonero 28.