OKUDIBAGA ENSIMBI ZA PDM :E Namutumba ab'amagombolola 7 bakwatiddwa
E Namutumba waliwo abakozi ku disituliki banna, n’abakulira emiruka musanvu abawummuziddwa ku mirimu nga balangibwa kwekobaana ne badibaga ensimbi za Parish Developement Model. Bano kigambibwa nti baliko ensimbi ze babade bajja ku buli muntu gwebawa ensimbi za PDM songa endala olumu bamanyi okuzeezibika Bano omubaka wa pulezidenti mu kitundu kino John Bosco Mubito abalagidde bagire nga baddako ku bbali banonyerezebweko.