Ttiimu y’omupiira ey’abakazi esuze bulindaala okuttunka ne Ethiopia
Ttiimu y’eggwanga ey’abakyala abazannya omupiira gw’ebigere, Crested Cranes esuze bulindaala okuttunka ne Ethiopia mu mpaka z’okusunsulamu abanaazannya ekikopo kya Africa eky’abakyala, Women’s Africa Cup of Nations, WAFCON.Omutendesi wa ttiimu eno, Sherly Botes akoowodde bannayuganda okujja mu bungi okuwagira.