Ab’amasomero n’abamalwaliro e Mbarara bali mu kusoberwa lwa bbula ly’amazzi
Amasomero namalwaliro mu district ye mbarara bali mukatuubagiro olw'ebbula ly'amazzi amayonjo gebakozesa mu bulamu obwabulijjo. Kati kino kiviiriddeko abaana okutataganyizibwa mu missomo gyabwe, kwossa na malwaliro okutataganyizibwa munbereza yaabwe. Abakakiiko ka Uganda Parliamentary Forum on Water, Sanitation and Hygiene, bakyaddeko mu kitundu kino okwetegereza embeera okulaba engeri gyesobola okugonjoolwamu.