Aba famire ya Julius Ssekamwa baagala bwenkanya
Abeng'anda z'omusajja Julius Ssekamwa omuserikale akuuma abakungu gweyakubye essasi n'amutta olunaku olw'eggulo baagala omuserikale eyakoze kino akwatibwe era asasulire kyeyakoze. Omugenzi Ssekamwa okuttibwa yamaze kufuna butakaanya na baserikale abaabadde ku kabangali, ababade baagala okubasegulira bayitewo, bweyaluddewo omu ku bbo namukuba essasi eryamuttiddewo.