Aba famire z’aba NUP abaawambiddwa bali mu kusoberwa
Ab'enganda z'abawagizi n'abakozi b'ekibiina ki NUP abaawambiddwa nga mu bano kuliko n'abakulira akakiiko k'ekibiina ak'ebyokulonda bakyali mu bweraliikirivu olw'obutamanya wa abantu baabwe gye bali. Bano betwogeddeko nabo, kuliko ne mukazi w'omu nga Nakawere ate nga takola atamanyi kinaddirira nga bba tayimbuddwa. Poliisi nate yegaanye okuba ng'erina yadde kye manyi ku kubuzibwawo kw'abantu bano.