Abaafiirwa abaabwe okubulumbukuka kwe ttaka e Bulambuli na kati basula bagugumuka
Kati emyezi gyisimberedde okuwera ebiri bukyanga ttaka liyigulukuka mu disitulikiti ye Bulambuli mu gombolola ye Buluganya, neribikka ebyako binna okyaviirako abantu abasoba mu 100 okulugulamu obulamu. Nakaakano abantu abafiirwako abaabwe bakyali mu nkambi eyateekebwa mu gombolola ye Bunambutye wakati mu nyiike n’okwennyika mu mitima. Omusasi waffe azeeyo e Bunambutya nayogerako n’abafiirwa abantu baabwe.