Abaasimattuse omuliro mu Kampala banyumya ekyabaddwo
Poliisi ekakasizza nti abantu babiri beebaafiridde mu muliro, ogwakutte wooteri ya SunRise mu Kampala olunaku lw'eggulo.Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango agamba abaafudde bonna ssi bannayuganda, ng'omu munnansi wa South Sudan ate omulala mutuuze wa Tanzania.Kyo ekituufu ekyavuddeko omuliro guno, nabo bakyakitankana.