Abaasomera St. Leo’s college basonze ez’okuddaabiriza ebizimbe
Ne Fort Portal waliwo abasabye gavument ekwasizeeko ku masomero agali ku musingi gwe ddiini okulaba nga galongoosa empeereza yago eri abantu Bino bibadde ku mukolo gw'okusonda ensimbi z'okudaabiriza ebizimbe by'essomero lya St Leo's College erimaza emyaka 10 okuva lwe lyatandikibwa ba White Fathers Omusumba w'essaza ly'e Hoima yakulembeddemu omukolo guno.