Ababaka bawakanyizza alipoota ya gavumenti ku by'okutulugunya aba NUP
Ababaka ba palamenti owatali kweyawulamu mu bibiina bya bufuzi bavumiridde efujo erikolebwa ab’ekwerinda ku bantu babulijjo mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North akagenda mu maaso, naddala okukuba abavuganya kko ne bannamawulire.Gavumenti yeyamye nti egenda kusasula ebisala by’eddwaliro by’okujjanjba munnamawulire Ibrah Miracle, eyakubwa ab’ekitongole kya JAT nga abadde Nsambya nga janjabirwa.Bino bibaddewo,minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga bwebadde ereese alipoota ku ebyo ebyaaliwo e Kawempe mu kuwenja akalulu okugenda mu maaso.