Ababundaabunda basiibukukira ku mazzi
Abanoonyi b'obubudamu mu nkambi y’e Kiryandongo na ddala abasiraamu balaze obwenyamivu olw’obuyambi okuva mu bitongole ebikwasizaako Gavumenti okukendeera. Kino kibalese mu kusoberwa n’abamu okutuuka okujuliria okuddayo e Sudan newankubadde embeera yaayo tenatebenkera. Bano bagamba nti ekisiibo ekitukuvu bakiyitiramu mu kusomoozebwa nga n'oluusi Futaali etuuka ate abasiibye nebagattako n'okusula. Enkambi eno erimu ababundabunda abasoba mu mitwalo kkumi era nga Red Cross edduukiriddeko abasiraamu 600 basobole okuyita mu Ramathan obulungi.