Abakristu batambudde okuva e Munyonyo okutuuka mu Kampala mu kutambula kw’okukkiriza
Ssabasumba w’ Essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere afalasidde abazadde okulaba nga bafaayo ku nkuza yabaana olusobola okwewala ebikolwa ebyesitaza ng’obulyake n’obukenuzi, obubbi , obufumbo obwebikukujju nebirala. Ssabasumba abadde asimbula abakristu abeetabye mu kutambula okwokukiriza okwokujjukira olugendo lwabajulizi nga bagenda okuttibwa ku biragiro bya Ssekabaka Mwanga. Okutambula kuno kutandikidde Munyonyo nekukkomekkerezebwa ku eklezia ya Matia Mulumba mu Old Kampala.