Abakugu bafunye webakolera okunoonyereza okutaasa ebyobulimi
Abakugu bagamba nti wakyaliwo okusoomoozebwa kunene, okubaga amateeka agalungamya ebyobulimi n'obulunzi olw'ebbula ly'engeri gye bayinza okukola okunoonyereza ku nsonga eno.Bano balowooza nti ebyobulimu ebiva mu Uganda byandibadde bikola bulungi ku katale k'ensi yonna, naye tewali mateeka galungamya balimi ku kiki ekituufu kye basaanye okukola okukuuma omutindo gw'ebirime byabwe.Olwaleero waliwo ekifo ekitongozeddwa okukoleramu okunoonyereza kuno ku ssetendekero Makerere eyo olwo eno ebalungamyenga mu buli kye bakola ku by'obulimi.