Enkuba e Bukomansimbi eresse abayizi basomera mu miti
E Bukomansimbi, abayizi wamu n'abasomesa mu magombolola okuli Kitanda, Bigaa ne Kigangazi bali mu bweraliikirivu olw'embeera embi abayizi baabwe gye basomeramu olw'enkuba efudemba ensangi zino eresse ebizimbe by'amasomero ku ttaka. Mu masomero agamu, kati abayizi basomera wansi wa miti. Mu nkuba eyatonnya wiiki ewedde, yaleka n'omuyizi amanyese okugulu,olw'ekisenge ky'ekibiina ekyagwa okumukuba.