Eza Zone Five zitandika nkya okuzannyibwa
Ebula olunaku lumu empaka za kiraabu zi kirimaanyi mu Volleyball ezimanyiddwa nga Africa Zone Five Volleyball Club Championships zigyibweko akawuuwo. Tukitegedde nti kkiraabu okuva mu mawanga okuli Kenya, Tanzania, Rwanda, Burundi ne South Sudan ezaakakasa okujja mu mpaka zino zaakuyingirawo olunaku lw’enkya. Kyokka wano kiraabu ya Sport-S ey’abasajja y’emu ku zesunze empaka zino. Mu mpaka ezaayita ezaali e Rwanda bano baatuuka ku luzannya olwakamalirizo kyokka Rwanda Police n’ebatwalako ekikopo.