Baabano abavubuka abakola amafuta g’ebidduka
Ku kyalo Namawojjolo mu ggombolola ye Nama mu disitulikiti ye Mukono,waliwo abaana b’e ssomero abafumbye obwongo ne batandika okukenenula amafuta nga bagajja mu kasasiro kko ne pulasitiika. Abavubuka bano bagamba nti obuyiiya buno baabufuna mu nsoma empya.Kyoka bagamba nti newankubadde baliko we batuuse, ensimbi zikyabeekubya mpi okugula ebyuma ebiyinza okubayamba okugakola mu bungi.