Poliisi eyagala watondebwewo kkooti ey'enjawulo eneeramulanga ku mateeka g'okunguudo
Ekitongole kya poliisi kyagala watondebwewo kkooti ey'enjawulo nga yeetengeredde, eneeramulanga abantu abamenya amateeka g'okunguudo okusobola okukendeeza ku bamenya amateeka agafuga okuvuga ebidduka.Poliisi egamba nti kino kisinga mu bavuga motoka za gavumenti abalowooza nti bannatagabmwako kuno gattako abakungu n'abantu abalowooza nti banene mu ggwanga.Wiiki ewedde, poliisi yafulumya alipoota yaayo ku bumenyi bw'amateeka nekizuulibwa nti abakulu abo waggulu, bebakira abalala mu kumenya amateeka g'okunguudo era nekizuulibwa nti obubenje obusinga bugwawo ku nnaku za ggandaalo olw'abavuga okuba nga bakongozze omumbejja nnamaalwa.