Ekirwadde ki Mpox kireesewo obweraliikirivu e Kyotera
Wabaluseewo obweraliikirivu mu district y’e Kyotera oluvannyuma lw'ekirwadde Kya MPOX okweyongera mu kitundu kino. Ab'obuyinza mu district y’e Kyotera batubuulidde nti ekirwadde kino kisinze kwegiriisiza nnyo mu bakyala nga kati district yonna yaakafuna abalwadde abawerera ddala 17.