Abakulira enkambi y’ababundabunda e Nyakabande batubuulidde nti embeera abayinze
Abakulira enkambi y’ababundabunda e Nyakabande mu disitulikiti ye Kisoro batubuulidde nti embeera abayinze, olw’ababundabunda abava e Congo abasusse obungi. Bano bagamba nti mu bbanga lya myeezi esatu gyokka baakafuna ababundabunda abasukka mu mitwalo mukaaga okuva e Congo, kyokka nga buli lunaku omuwendo gulinnya. Kati bano bagamba nti betaaaga buyambi naddala mu by'okulya.