Ensonga y’akalulu esoosowaziddwa mu bubaka bwamazuukira obuweereddwa bannaddiini
Ensonga y’akalulu akabindabinda ebadde ku mwanjo nnyo mu bubaka bwamazuukira obuweereddwa bannaddiini. Olwaleero, Omulabirizi wa Bunyoro Kitara, Jacob Ateirweho Amooti, asabye bannayuganda bonna okwettanira emirembe ng’eggwanga lyolekera akalulu ka bonna aka 2026. Ono asinzidde ku lutikko y’obulabirizi buno eya St. Peters e Hoima n’asaba ne bannabyabufuzi okwewala ebyobufuzi ebyokumetta be bavuganya nabo enziro. Ye omusumba w’e Masaka Severus Jjumba akunze abakkiriza okulonda abakulembeze abagwanidde