Abakulira enzikiriza ezisuuta Kristo basabye bannayuganda okwewala ebikolwa ebyokwonona obutonde
Abakulira enzikiriza ezisuuta Kristo nga bayita mu Kakiiko akabagatta ka Uganda Joint Christian Council basabye bannayuganda okwewala ebikolwa ebyokwonona obutonde okusobola okulwanyisa ebibimba ebifuuse baana baliwo mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu. Mu kusaba okuyindidde ku kisaawe kya Old Kampala, bano era bavumiridde ebikolwa by'enguzi n'obutabanguko obutera okweyoleka mu biseera byakalulu. Amyuka omukulembeze w'eggwanga Jessica Alupo asabye bannadiini bano okwagazisa abakkiriza okwettanira enteekateeka za gavumenti ez'okwekulaakulanya