Abalwadde b’akafuba n’ebigenge baakuganyulwa mu za PDM okwedaabulula
Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja alagidde abakulembeze bonna mu gavumenti ez’ebitundu okukunganya abalwadde b’ekirwadde ky’akafuba (TB) n’ebigenge batandike okufuna sente za Parish Development Model oba PDM. Nabbanja agamba nti baanayuganda balina ebirwadde bino basaasanya senté nyingi ku kwejjanjabisa era nga kikosa ebyenfuna byabwe. Nabbanja abadde aggulawo ttabamiruka ow’omusanvu ow'okulwanyisa ekirwadde ky'akafuba n’ebigenge.