Enkaayana mu butale: Ababaka baliko bwe balambudde
Bannanyini mayumba agali mu katale ke Bugoloobi ne Nakawa, basabye gavumenti okubaliyirira mu kaseera Kano nga baagobwa mu nyumba zabwe olwekiragiro Kya president. Bagamba nti webutuukidde olwaleero nga tebakyasobola kusolooza ssente mu nnyumba zebezimbira, ekitadde obulamu bwabwe mu mbeera yokwennyamira. Bano babadde basisinkanye nabakakiiko ka parliament akakola ku nsonga z’obwa president, abali mu kulambula obutale bwa KCCA, okulaba embeera gyebulimu.