Shebela Nabaweesi akuze azunga na nsi
Newankubadde Uganda eriko wetuuse mu kulwanyisa akawuka ka mukenenya, ekireetedde n’omuwendo gw’abakwatibwa akawuka buli mwaka okukendeera,abakosebwa akawuka kano bakyawangaalira mu mbeera ey’ennyamiza. E mukono eyo waliwo omwana Shebelah Nabaweesi eyafiirwa abazadde bonna nga akyali bujje, mu kaseera kano eby’okusoma bimwekubya mpi oluvanyuma lw’abenganda okumusuulawo. Abazira kisa abaamukwatako okumusomesa bagamba nti nabo amaanyi gabayinze, betaaga buyambi.