Abantu 8 bafiiridde mu kabenje e Kakira
Kikakasiddwa nti abantu musanvu bebaafiiridde mu Kabenje akaagudde mu bikajjo by’e kakira ku luguudo oluva e jinja okudda e Iganga mu kiro ekikeeseza enkya ya leero. Abafudde babade mu taxi ebadde eva mu disitulikiti e Namisindwa okudda e kampala nga eno y'etomedde ne ki loole ekibadde kyeetise ebikajjo ekyafiiridde ku kkubo. Poliisi etubuulidde nti kati enoonyereza nsonga ntuufu eyaviiriddeko akabenje kano.