Embuto mu batanneetuka: E Bukoto basomeseddwa
Abakulembeze ku kyalo Mulimira mu muluka gwa Bukoto I mu gombolola ye Nakawa bali mukutya olwomuwendo gwabaana abazaala nga tebaneetuka okweyongera buli lukya. Bagamba okuva mu biseera bya covid 19 nokutuusa kati, omuwendo guno gulinya bulinya mukifo kyokukendera. obuzibu, babutadde kubwaavu obufumbekedde mu bantu.