Akalulu k’e Kisoro abalonzi tebakajjumbidde
Wetujjidde ku mpewo ng’okubala obululu mu disitulikiti ey’e Kisoro kugenda maaso abaayo abakedde okukuba kalulu ak’okulonda omubaka omukyala anaakikira disitulikiti eno mu palamenti ,ng’adda mu bigere by’omugenzi Sarah Matake eyali omubaka we kitundu kino.
Tukitegedde nti okulonda kuno tekujjumbiddwa nnyo, nga n’awamu kuwedde mu tuntu.
Poliisi etubuulidde nti ekutteyo abantu 10 nga ebalanga kwetaba mu bikolwa ebyefanaanyirizaako eby’okubba akalulu, songa yye omubaka wa Bafumbira North Kamara Nzeyimana naye anoonyezebwa ku nsonga y’emu.