Enguzi mu palamenti:Bannakyewa boogedde obuzibu we buva
Okusinziira ku bannakyeewa, kyandiba ekizibu ababaka ba palamenti okwewala ebikolwa by'obuli bw'enguzi nga abalonzi baabwe bakyabakanda obuweereza obwa ssekinoomu, omuli okubaweererera abaana, okusonda emikolo n'ennyimbe. Bannakyewa bagamba nti, ebintu nga bino, byongera okumalako ababaka ensimbi nga so singa wabaawo akabaluse ng'enjogera y'ennaku zino, bano kyangu okutendewalirwa. Bano era balabudde ne gavumenti ku nteekaateka y'okugatta ebitongole byayo ebitali bimu, gye bagamba nti ylimu ebirumira.