Akalippagano ku nsalo: Ebyuma ebikebera mmotoka eziyingira Kenya bifudde
Eby'entambula bisannyaladde ku nsalo essatu ezigatta Uganda ne kenya okuli eye Busia, Malaba ne Lwakhakha, nga kino kiddiridde ebyuma bikali magezi ebikebera emmotoka eziyingira Kenya okufa, ekiremeseza emmotoka eneetisi z’e by'amaguzi okusala. Tukitegedde nti ebyuma bino bizze bikyankalana kati wiiki ziweze bbiri, kyoka olunaku lw'eggulo byaviiriddeko ddala , kale nga emmotoka zonna eziva mu mawanga amalala kati tezikyasobola kuyingira Kenya. Abawooza b'e misolo ku ludda lwa Uganda baliki byeboogedde ku nsonga eno.