E Lango abaana b’ebbali balina ennyonta y’okulaba bazadde baabwe
Waliwo okusosolebwa oba okuboolebwa kw’abaana abazaalibwa ebbali w’obufumbo oba ebbali w’abaagalana ababiri abatannaba kulongoosa bufumbo naye nga babeera wamu. Abaana bano tebaba na musango naye ebiseera ebisinga tebafuna ebyo omwana by’alina okufuna kuva ku muzadde. Ekizibu kino kibaddewo okumala ebbanga nga tekifiibwako naye nga kyetaagisa okusalirwa amagezi. NTV yatuuseeko mu bitundu by’e Lango okukuggyirayo ekifaananyi ky’obuzibu abaana ab’ebbali bwe bayitamu.PATRICK SSENYONDO akyali mu bitundu bino okuwayaamu n’abaayo.