Ssukaali akwata abaana yeeyongedde
Nga uganda yeegatta ku nsi yonna okwefumiitiriza ku lunaku lw'abalwadde ba Sukaali , waliwo abali mu bwennyamivu olw'omuwendo gw'ababulina abatasobola kwetusaako bujjanjabi abeeyongera buli lukya.Kizuuse nga newankubadde government ezze yeeyunira tekinologiya ow'enjawulo okukakkanya ku sukaali gamba nga enkola insulin pumps, insulin pens abalwadde zebzkozesa okwekuba eddagala saako n’enkola endala, abajjanjaba sukaali bagamba nti kikyetaagisa okweyambisa enkola nga eya Continuous Glucose Monitors okukebera entambula ya sukaali mu mibiri nga beeyambisa tekinologiya omupya ow’okumukeberera ku lususu.