Abapokooti betannidde okukuuma emiti gi nnansangwa
Abapokot abawangaalira mu Disitulikiti y’e Amudat mu bukiikakkono bw’obuvanjuba bwa Uganda baludde nga banyweza ennono y’okukuuma emiti emizaaliranwa, era gino mikulu nnyo mu buwangwa bwabwe n’obutonde bw’ensi. Kyokka wazzeewo obweraliikirivu nti bye babadde bakuumye okumala emyaka n’ebisiibo byandisaanawo olw’obwetaavu bw’okulima n’ebyenfuna ebirala ebireeta enkulaakulana mu kiseera kino. Obutonde bwabwe bwandisaanawo olw’ensong eno. Herbert Kamoga abadde atalaaga district eno era ebisingawo y’abirina.