Godfrey Lubega ayagala kuvuganya mu mpaka za body building ez'ensi yonna
Abazannyi b’emifumbi kiyite body building okuli Godfrey Lubega ne Swafalu Tamale olwaleero baaniriziddwa mu kibiina ekifuga omuzannyo guno mu butongole okuva e Dubai gye baawangulidde emidaali gya zaabu mu mpaka ezimanyiddwa nga IFBB Wawan Classic. Ababiri bano batutegeezezza nti baamaze dda n’okwewandiisa mu mpaka z’ensi yonna ezigenda okubeera e Spain mu June w’omwaka guno era ssi baakuwummula.