Ekifo omuti gwa Nakayima wegusangibwa kizzeemu okuggulwawo
Ekiifo ekisabirwamu mu ngeri y'obuwangwa ekyakazibwako Nakayima ekyali kyaggalwa gyebuvudeko oluvanyuma lw'etabi erimu ku muti eryali likaze okuvaayo nerikuba abantu abali bakunganye okusaba mukiro ngabebase neritta abantu abawera, akawungeezi kajjo kyazeemu okuggulwawo. Kino kyaddiridde olukiiko olw'akubiddwa okusala amagezi g'okukwewala ebyali okuddamu era nga abagoberezi ba Maama Nakayima batereeddwako ebiragiro bye balina okugoberera buli lwe bajja mu kifo kino.