Omuliro e Masaka gusanyizzaawo bya bukadde
Nabbambula w'omuliro atanamanyika kw'avudde asanyizzaawo ebintu bya bukadde na bukadde e Bukoto Masaka. Omuliro guno gwatandise ku ssaawa kkumi nga bukya era nga amaduuka g'abasuubuzi agawerera ddala musanvu tegalutonze. Amaduuka agasanyiziddwawo omuliro guno gabadde ku kizimbe ekya Hajji Sulaiman Nsubuga nga gasangibwa ku kyalo Bukoto mu divizoni ya Kimaanya -Kabonera mu Kibuga Masaka era mu kiseera kino abasuubuzi abakolera ku kizimbe kino gebakaba gebakomba.