OKUYIGIRIZA EBIVUGA: Abazadde e Masaka kibataasirizza abaana
Waliwo essomero e Masaka eriyigiriza abaana okukuba, okukommonta, n’okusuna ebivuga eby’enjawulo. We twatuukirayo, abayizi baali bakyali mu luwummula nga tebannadda ku ssomero ne tutegeezebwa nga bwe kyettaniddwa abazadde abaagala okukuuma abaana baabwe mu luwummula nga baliko bye bakola mu kifo ky’okutaayaaya. Abaana okuva ku myaka ena, abawala n’abalenzi bonna obasanga ku bivuga mu kaweefube w’okutumbula ebitone byabwe.