Ebbula ly’amazzi e Kiboga, abatuuze bagaanye okukozesa aga ttaapu
Tukitegedde nti ebbula lyamazzi lirumbye tawuni kanso ye Kiboga nga kano ekidomola kyamazzi kigula wakati wa nusu bitaano okutuuka ku lukumi. Abatuuze bagamba nti omutawana gwonna guva ku mazzi aga tapu okubaamu omunyo, ekiremesezza abatuuze okugeeyambisa mu mirimu nga okufumba, oba okwoza. Abakulembeze bagamba nti nabo embeera ebasuseeko, nga kakano ne taapu ezimu ez’olukale abatuuze baaziddukako , basiiba mu nyiriri ku midumu n’ebidiba ebiri okumpi nga basena mazzzi.