Abatuuze mu Amudat batambula ngendo okufuna empeke z’eddagala
Embeera y’eby’obulamu mu district y’e Amudat eyungula ezziga nga eriyo n’abatuuze abatindigga olugendo olusoba mu kilomita 30 okufuna empeke ya Panadol mu ddwaliro lya government. District eno erina amalwaliro 11 gokka nga aga gavumenti gali mwenda nga agasinga gali ku ddaala lya Health Centre II. Ate ag’obwannannyini gali abiri nga kwe kuli n’eddwaliro eddene mu district eno. Amalwaliro agamu galina abasawo babiri bokka ate nga n’ebikozesebwa ebisinga tebabirina. Herbert Kamoga ye yabaddeko mu district eno nga alondoola embeera y’eby’obulamu.