Abavubuka ba ‘Museveni mu ghetto’ bakunze bannaabwe
Abavubuka abakulira enteekateeka ya Museveni mu ghetto bakunze bannabwe mu ggwanga okwettanira emirembe n’okwewala okwenyigira mu bwegugungo nga bagamba nti bangi ku bannabwe bakoseddwa byansusso mu bikolwa by’effujjo so ng’abalala baluguzeemu obulamu n’okusibwa mu makomera . Akwanaganya enteekateeka eno Fizal Khalid Ssemakula, agamba nti waliwo enteekateeka ezenjawulo abavubuka mwebasobola okwenyigira okusobola okweggya mu bwavu okusinga okwenyigira mu bikolwa ebitabangula emirembe