Abavuga emmotoka z’amafuta boogedde ebirina okukolebwa okubukendeeza obubenje
Abamu ku baddereeva abavuga mmotoka z'amafuta bagamba nti Poliisi y'ebidduka erina okukola ekisoboka okulaba nga mmotoka eziri mu mbeera embi tezikkirizibwa ku nguudo mpozi n'okulondoola obumanyirivu bw'abantu abavuga mmotoka zino .Bano era basabye abatuuze mu bitundu awaba wagudde obubenje bwa mmotoka zino okumanyisibwa obulabe obuli mu kugezaako okuziggyamu amafuta.